Abeegwanyizi bendera ya NUP ku bubaka bwa palamenti mu bitundu by’e Wamala, Bugisu ne Bukedi leero nabo basusunddwa ekibiina era nga buli omu avuddeyo awera nti yagenda okuweebwa kkaadi y’ekibiina.Bano Akakiiko k’eby’okulonda mu NUP kabalabudde okwewala eby’obufuzi eby’okufiirawo.Akulira akakiiko kano Harriet Chemutai agamba nti entekateeka y’okusunsula egendereddwamu okusobozesa ekibiina okufuna abantu abagenda okubasobozesa okuwangula akalulu ka 2026.