Emivuyo ku kaadi ya NUP: Ekibiina kinnyonnyodde obuzibu webuli

Gladys Namyalo
1 Min Read

Abakulu mu kibiina ki National Unity Platform batangaazizza ku mivuyo egyalabikidde mu kunsunsula abeegwanyiza obukulembeze ku mutendera gwa gavumenti ez’ebitundu,abamu abababade balowooza nti beebakwatidde ekibiina kino bendera ne bagaanibwa okunsulwa.

 Ateekerateekera ekibiina kino David Lewis Rubongoya agambye nti olukalala lwebasooka okufulumya terwali lwa nkomeredde, kale kino kyekyabwaliririzza okubaako abamu bebajjamu.

 Rubongoya atugambye nti enkalala entuufu baaziwerezza eri akakiiko k’ebyokulonda, okwewala bannakigwanyizi abaagala kunsulwa ate nga ssi beebaweebwa kaadi.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *