Abakugu mu kujjanjaba kookolo w’abaana bakkizudde nga ku buli baana kkumi abalina kookolo, basatu bokka bebatwalibwa mu malwaliro okujanjabwa. Batubuulidde nti omutawaana gwonna guva ku butamanya obufumbekedde mu bazadde, bagenda okubatuusa mu malwalirio nga tebakyataasika. Kyoka abasawo bagamba nti kookolo ono yye asobola okuwona, kasita ayanguyirwa okujanjaba.