Kkooti e Masaka esomedde Ssentebe wa district y’e Lwengo Ibrahim Kitatta emisango ena egigambibwa okuba nti yagizza mu kiseera ky’okunoonya akalulu k’akamyufu ka NRM gyebuvuddeko mu Gwomusanvu.
Emisango Siri ena, omuli obubbi, n’okugezaako okutta omuntu, wabula Kitatta agyegaanye.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti lulina obujulizi obuluma musajja-mukulu ono era alukulira Mariam Njuki abadde ayagala ono asindikibwe ku alimanda obutatataaganya kunoonyereza.
Kyokka Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka Simon Ntoroko kino akigaanye era n’akkirizza Kitatta okufuluma abe nga awoza alya butaala.