Omumyuka wa ssentebe w’ekibiina ki NRM omukyala Rebecca Alitwala Kadaaga era nga nate yegwanyiza ekifo kino alabudde Ssentebe w’e kibiina Yoweri Museveni nti singa taakole ku nsonga y’okugulirira abalonzi eyeyolekedde mu kulonda kw’ekibiina, boolekedde akaseera ak’akazigizzigi.Kadaga agamba nti yalabye kyatalabangako, nga abantu bagaba amasimu ne nsimbi mu kiro ekikeeseza olwaleero awatali n’abagambako.Yye gw’avuganya naye Annet Anita Among akakasiza abakiise nti singa basiima ne bamuwa akalulu bajja kuba balonze kyapa mu manya gaabwe,kuba yye mukugu mu kukungira ekibiina obuwagizi.