Omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Museveni abuulidde eggwanga nti kati olutalo lwasigazza lwakukola butaweera okusitula eby’enfuna bye ggwanga uganda eyingire omutendera gwa bannaggwadda mu bbanga ettono ddala okuva kati.Pulezidebnti agambye nti ebisinga ebyetaagisa nga enguudo amasomero,amalwaliro n’ebirara bikoleddwako, kakati kyazaako kufuba kulaba nga buli munnayuganda abaako nakasente mu nsawo.Pulezidenti bino abyogedde aggulawo ttabamiruka w’ekibiina mwebagenda okulondera abakulembeze bekibiina abatuula ku likiiko olwokuntikko oba Central Executive commitee.