Omu ku babade beegwanyiza okuvuganya ku bwa pulezidenti kyoka natasunsulwa kakiiko ka byakulonda John Katumba akukkulumidde abakakiiko kano nga agamba nti kino baakikoze na kigendererwa.Atubuulidde nti emikono gyonna egyimusemba okuvuganya yagiwaayo mu budde , kyoka era obudde bwatuuse kugwayo nga tasunsuddwa.Ono atisatiisiza nga bw’aliko abantu baagenda okukuba mu mbuga z’amateeka ku by’obutamusunsula.