Pulezidenti wa NUP era akwatidde ekibiina kino bendera okuvuganya ku kya pulezidenti wa Uganda Robert Kyagulanyi Ssentamu asabye abantu be Mbarara okuwagira enkyukakyuka mu kalulu ka 2026Kyagulanyi abadde aggulawo wofiisi za NUP e Mbarara ezigenda okweyambisibwa okukunga obuwagizi eri ekibiina Ssaabawandiisi w’ekibiina kino David Lewis Rubongoya ategeezezza nti ettaka okuzimbiddwa wofiisi zino lya kibiina.