Baddiifiri be bamu ku bantu abagenda okuteekebwako ennyo amaaso mu nzannya empya eya liigi enkulu ey’eggwanga Uganda Premier League eyagyiddwako akawuuwo ku wiikendi ewedde.
Ronnie Kalema omukungu mu kibiina ekifuga omupiira Fufa era nga y’avunaanyizibwa ku by’okukulaakulanya omupiira aliko by’atubuulidde ku mateeka agafuga ba ddiifiri.