Lutikko ye Lubaga eri mu kuyooyootebwa okwamaanyi mu kwetegekera emyaka kikumi bukya ezimbibwa Tukitegedde nti omulimu guno gwabalirirwa obuwumbi bubiri n’obukadde lukaaga wabula nga Eklezia yakakunganyako akawumbi kamu n’obukadde bisatu kuzino Abali ku mulimu gw’okuyooyota eklezia eno n’olwaleero basiibye bakola okulaba ng’olunaku lwebikujjuko lwennyini olwa nga 26 October omwaka guno, lubasanga bamalirizza.