Abakulembeze mu kibiina ki NRM mu Buganda batandise kawefube ow’okuperereza abantu abaagwa mu kamyufu k’ekibiina obutesimbawo nga bannamunigina. Bano babadde n’ensisinkano mwe basinziidde okutegeeza nti singa tebasala ga nkolwa ku luno, oludda oluvuganya lwandiddamu nelubakubya kaga mu kulonda kwa 2026. Gyebiggwereedde nga waliwo abagwa mu mamyufu abakkirizza obutavuganya nga bannamunigina.