Embooko ku kitebe kya NUP: Amagye ne poliisi bakubye ababadde bakung’aanye

Gladys Namyalo
1 Min Read

Akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu asabye bonna abataaweereddwa kaadi za kibiina okufuba okulaba nga bawagira bannaabwe abawangudde mu kifo ky’okwewaggula besimbewo nga bannamunigina.

 Kyagulanyi agamba nti nga yye omukulembeze mpaawo kaseera kamuteeka ku bunkenke nga ak’okugaba kaadi eri abanaakikirira ekibiina, kyoka nakakasa nti talina buyinza bwonna ku kusalawo aweebwa kaadi.

Bino abyogeredde ku kitebe kya kibiina e Makerere kabvule bwabadde ayaniriza Ronald Balimwezo akwatidde ekibiina kaadi ku bwa meeya, oluvanyuma lwokusunsulwa akakiiko k’eby’okulonda.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *