Ttabamiruka wa NRM agenda okutuula e kolola yagenda okusalawo Eggoye ku ani agenda okutwala ekifo kyamyuka ssentebe wa NRM omukyala mu ggwanga. Kino kiddiridde abavuganya ku kifo kino okuli Rebeca Kadaga ne Sipiika Anita Among okulemererwa okukkaanya ku ky’omu okukirekera munne. Ababiri baweereddwa omukisa okubaako bye bategeeza abakiise mu lukiiko lw’ekibiina oluyitibwa National Executive Committee olutudde mu maka g’obwa pulezidenti e Ntebe.