E Mpigi nayo waliyo abawagizi ba NUP abeesaze akajegere ne balumba woofiisi z’ekibiina mu kitundu ekyo nga bawakanya eky’omuntu waabwe okummibwa bendera y’ekibiina. Bano bnga bawagizi ba Musa Bukenya beewuunya lwaki omuntu waabwe yammiddwa bendera so ngate alina obuwagizi mu balonzi era nga byakoze byeyogerera. Kyokka abatwala ekibiina mu kitundu kino basabye bannakibiina okuba abakkakamu nga bwe bakola ku nsonga zaabwe.