Calvin David Echodu eyalondeddwa okukikirira ekitundu ky’obuvanjuba bwa Uganda ku lukiiko lw’ekibiina kya NRM olw’okuntiko oluyitibwa CEC agamba nti agenda kukozesa ekifo kino okunyweza obuwagizi bw’ekibiina ky’e mu byalo naddala gy’eyalondeddwa okukikirira, okukwata ku bavubuka n’okunyweza obumu. Mu mboozi eyakafubo n’omusassi waffe Herbert Kamoga, Echodu atubulidde nti okuwanduka kwa Mike Mukula tekulina kye kwakyusizza kyamaanyi kubanga y’ali mukakafu nti akalulu yali wakukawangula.