Akakiiko akassibwawo Omukulembeze w’eggwanga era ssentebe wa NRM okukola ku kwemulugunya olw’ebyava mu kamyufu kakasizza bonna abatannafuna nsala zaabwe nti baakuzifuna ng’okusunsula abeegwanyiza ebifo mu gavumenti ez’ebitundu mu kalulu ka 2026 tekunatandika. Enoch Barata akulira eby’amateeka mu NRM, agamba bannamateeka abatuula ku kakiiko kano bakola butassamukka butassa mwoyo okulaba nga webunaatuukira manda nga bafulumizza ensala zonna Bino webigyidde nga waliwo banna NRM abeemulugunya nti tebannafuna nsala yaabwe.