Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni alonze Ssaabawaabi wa Gavumenti Jane Frances Abodo ku kyakulira abalamuzi ba kkooti enkulu okudda mu bigere bya Flavian Zeija eyalondebwa ku bumyuka bwa ssaabalamuzi gye buvuddeko. Bwanaaba akakasiddwa palamenti, Omulamuzi Abodo yajja okuba omukyala asoose mu byafaayo bya Uganda okubeera mu kifo kino. Katwongere okutegeera ku bikwata ku mukyala ono.