Waiswa Mufumbiro asabye kkooti emukkirize yeeyimirirwe

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Olwaleero amyuka omwogezi w’ekibiina ki National Unity Platform Alex Waiswa Mufumbiro nate alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kooti esookerwako e Nakawa okusaba okweyimirirwa. Ono atawaana n’emisango ebiri okuli n’ogwokukunga abawagizi b’ekibiina ki NUP batte abakuuma ddembe wonna we babasanga. Ono nga ayita mu bannamateeka be okuli Samuel Muyiizi ne Evans Ochienge baleese abantu basatu okumweyimirira okubadde mukyala we Edith Katende,omubaka we Nakawa East Ronald Balimwezo ne kitaawe Moses Baligeya Mufumbiro. Kyoka omulamuzi alagiddde ono azzibweyo mu kkomera okutuusa nga 13th November , kiwe akadde munnamateeka wa gavumenti Mahatima Odongo okubaako kyayanukula ku kusaba kwabano. Ng’ogyeko omusango guno, Mufumbiro era alina n’omusango omulala gw’avunaanwa ne banne abalala mwenda ogw’okukola duyiro w’ekinnamaggye nga tebalina lukusa.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *