Ekitongole ki Uganda Wildlife Authority kirangiridde nga bwekifunye embwa ezigendanga okukiyambako mu kunoonya abo ababa bakukusa eby’omunsiko. Embwa zino zigenda kuteekebwa ku nsalo ez’enjawulo gattako n’ekisaawe ky’ennyonyi nga ziweereddwa obukodyo mu kukonga ensu za buli nsolo n’ebizivaako.Mu ngeri y’emu UWA ekyagenda mu maaso n’okuzza enkusu 199 ku ttale, n ga zino zaali zikwatiiddwa ne munnansi w’eggwanga Congo nga azikukusa okuva mu bitundu by’e Kisoro.