Eyakulirako ettendekero lya MUBS Prof. Wasswa Balunywa asindikiddwa mu kkomera e Luzira yebakeyo okutuuka nga ttaano omwezi guno lwanakomawo mu kkooti okuwulira ensala ya kooti ku kusaba kwe okw’okweyimirirwa. Prof. Balunywa alangibwa kukozesa bubi woffisi mu kisera weyakulemberera ettendekero lino nga kigambibwa nti ono yagaba emirimu eri abantu abasukka mu kikumi ku ttendekero lino nga tebalina bisanyizo. Emisango Prof,Balunywa agyeganye.