Robert Kyagulanyi Sentamu akwatiidde NUP bendera mu bwa president, mu lukungaana lwe e Mubende atuukidde ku Bodaboda oluvannyuma lw’abebyokwerinda okumukandaaliriza nga bamwetolooza ebyalo ky’agamba nti kibadde kigenderere atuuke kikeerezi.
Ono si musanyufu n’ebigenda mu maaso n’ebimutusiibwako buli gy’ayita.
Ab’e Kassanda gye yasookedde yabalekedde essuubi ly’okukyusa ekitundu kyabwe kabya akwata obuyinza.