Ab’oludda oluvuganya beeyamye ku nsonga za Besigye
Sipiika wa palementi Anita Amongo leero atadde minisita we by'amateeka Nobert Mao ku nninga ng'ayagala anyonyole eteeka gavumenti mwekyasinziira okukuumira Dr Besigye mu kkomera, kyoka nga kkooti ensukulumu yalagira dda emisango egyimuvunaanwa gitwalibwe mu kooti eza bulijjo.
Kyoka mu kwanukula,minisita agambye nti ekibadde kikyasibye okukola ku nsonga za Besigye bwebutabaawo kiragiro kya kooti ensukulumu ekitangaaza ku nsala yaayo.
Ono awadde Palementi esuubi nti omusango bannamateeka ba Besigye mwebaasabira aleetebwe mu kooti mu bwangu ddala guwulirwa nkya mu kooti enkulu, kale nga kino kyandireetawo enjawulo.