Abasuubulira e South Sudan bagamba bakolera ku bunkenke
Abavuga Motoka z'ebyamaguzi kwossa abatambuza abantu okuva mu Uganda okugenda mu ggwanga lya South Sudan, bagamba obunkenke obuva ku butabanguko obugenda bweyongera mu ggwanga lya Sudan Sudan butandise okugootanya ebyobusuubuzi wakati w'amawanga abiri nga waliwo ne bannaUganda abasazeewo okugira nga bayimirizaamu okutwalayo ebyamaguzi.Kyokka abasuubuzi bagamba wadde nga bizinensi zitambula kitono, embeera ebadde tennatabanguka nnyo era n'emotoka okuva e Uganda zikyesogga Uganda awatali kutaataganyizibwa.