“AYIMBULWE AWATALI KAKWAKKULIZO” Bannakyewa balabudde kkooti ku bulamu bwa Besigye
Bannakyewa okuva mu bibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu eby'enjawulo begasse ku bannayuganda abalala okusaba gavumenti eyimbule Dr Col Kiiza Besigye kko n'abasibe abalala abaasibwa wansi w'ebiragiro bya kooti y'amaggye.Bano okuvaayo kiddiridde okukimanyaako nti Dr Besigye asemberedde okutondokera mu kkomera olwokumala ebbanga nga yazira e mmere.Kati bano basaba Besigye ayimbulwe awatali kakwakkulizo , kubanga mpaawo teeka lyonna likyamukuumisa mu kooti.