Bangi ku babaka tebawagira kya kuzza etteeka erikola kkooti y’amagye
Gavumenti ejjeyo eteeka mu palament elyaali lisaba enongosereza mu teeka ly’amaggye li UPDF Act nga ekigendererwa kusooka kugattamu buwayiro obunaawa kooti y’amaggye obuyinza obuwozesa abantu ba bulujjo.Nampala wa gavumenti Denis Obua atubulidde nti kino bakikoledde wansi wa buwabuzi bwa Pulezidenti era nga zino zeezimu ku nsonga ezigenda okisimbwako amanyo mu lusirika lwa babaka ba NRM enkya mu maka gobwa pulezidenti e Ntebe .Kyoka kino waliwo ababaka ba palementi abakiwakanyiza nga bagamba nti kimenya mateeka okukola engosereza mu nsala ya kooti ensukkulumu.