Katikkiro awakanyizza eky’okumusiba Besigye nga mulwadde
Katikkiro wa Buganda Charles Peter asabye gavumenti obutava ku bweyamo bwayo obwokutambuliza eggwanga ku nfuga eyamateeka, kko nokuwa ekitiibwa eddembe ly’obuntu. Katikkiro bino abyogedde abyesigamya ku kya kooti okukaliga Besigye, kyoka nga ekimanyidde ddala nti mulwadde eyetaaga obujanjabi, Katikkiro bino abyogeredde ku Bulange ku mukolo ogw’okutongoza enkola eye Luwalo Lwaffe eyomwaka 2025.