Okuwamba banna NUP: babiri ku bakulira akakiiko k’e byokulonda bazuuse
Babiri ku bannakibiina ki NUP, abatuula ku kakiiko akalondesa abaabadde bawambiddwa abebyokwerinda boogedde ku byebaayisemu nga bali mu buwambe. Bano Bano okuli Mercy Walukamba ne Rahma Juma babuziibwawo ne bannaabwe abalala babiri ku Lwokubiri lwa wiiki eno bwe baali bava okuziika mu bitundu by'e Rakai. Bano bagamba nti babuuziiddwa ebibuuzo bingi omuli n'ani avvujjirira emirimu egitambuzibwa mu kibiina ki NUP.