Omuliro e Fort Portal: ebintu bya bukadde bitokomose
Omuliro ogutanategerekeka kwe gwaavudde gwakutte amaduuka ekiro ekikesezza olwaleero e Kawungabunyonyi mu kibuga Fort Portal neguleka ebintu bya bukadde nga bisaanyeewo. Guno omuliro gwa mulundi gwa kuna nga gusaanyaawo ebintu bya bantu mu kibuga Fort Portal mu bbanga lya myaka ebiri.