Ababaka ba NRM bateesa kwongera kooti y’amagye buyinza
Ababaka ba b’akabondo ka NRM olwaleero bakedde mu maka gw’obwa pulezidenti Entebbe nga ekigendererwa kukkaanya ku bbago erigenda okuleetebwa mu palamenti ery enonoogosereza mu teeka lya UPDF Act, lino nga bagala liweebwe obuyinza obwa bannauganda abatali bannamagye okusigala nga bavunanibwa mũ kkooti y’amagye wadde nga kkooti ensukulumu kino yali ekijunguludde. Ababaka ba NRM bagamba nti bagenda kutunuulira eteeka oba nga ddala liri ku mwoyo gwa kuwereeza bannauganda bulungi, era nga nga bagenda kulyekeneenya okulaba nga lituukana nè ssemateeka ưa uganda. Twogeddeko n'ababaka ba NRM nga boolekera entebbe okusisinkana omukulembeze weggwanga.