Omuntu awangaala kyenkana ki nga muyala ?
Ennaku zikunukkiriza kuwera 10 bukyanga Dr Col Kiza Besigye asalawo kuzira mmere nga yekamwaana olwa kooti kyayita kooti okumukuumira e Luzira kyoka nga talina musango. Ekya besigye okumala ennaku zino nga talya, kyoka nga akyali mulamu kyewunyisiza abantu bangi, nekitondawo nekibuuzo ku nnaku mmeka omuntu zayinza okumala nga talya, naye nga akyali mulamu. Mu buufu obwo twogedeko n'abasawo naddala abakugu mu byendye ne babaako bye batangaaza.