Ebbugumu mu kulonda kwe Kawempe: banna NRM mukaaga bavudde mu lwokaano
Bannakibiina ki NRM e Kawempe North batubuulidde nti abantu 6 ababade baagala okuvuganya ku bwannamunigina oluvanyuma lw’obutaweebwa bendera ya kibiina bakkiriza okudda ku bbali balekera munaabwe Faridah Nambi eyaweeba kaadi. Bino byanjuddwa Ssabakunzi wa NRM Roosemary Sseninde nategeeza nga kati bwebasigazza gwa kunoonya kalulu. Kyoka newankubadde guli gutyo yye Hanifa Karadi naye eyali ayagala kaadi ebyokuva mu lwokaano abigaanye.