Bannamawulire abaakubwa e Kawempe batutte okwemulugunya kwabwe
Banamawulire abaakubibwa abebyokwerinda mu kalulu ka Kawempe North olwaleero beekubidde enduulu mu kakiiko akalwanirira eddembe ly'obuntu ka Uganda human rights commission.Bannamawulire abasoba mu 20 bebatuukiridde akakiiko kano nga bagamba nti kyabwenkanya okulaba abantu abaabayisa nga ekyokuttale nga basimbibwa mu mbuga z'amateeka babitebye bannyonnyole oba nga kyali kigenderera okubawewenyuula emiggo emingi bw'egityo.