Bannansi ba Tanzania 30 bakwatiddwa mu kaweefube w'okulwanyisa envuba embi
Waliwo ekikwekweto ekikoleddwa ku nnyanja Nalubaale, amagye agalwanyisa envuba embi mwegakwatidde bannansi ba Tanzania 30 ababadde basala ne bavubira mu Uganda mu bumenyi bw'amateeka.Abavubi ku nnyanja eno mu district ey'e Mpigi beekokkola abatanzania bano bebalumiriza n'abamu okubatta, okubatulugunya n'okubabba.