Ssente za bbanka y’eggwanga be zaabulako baziddwayo ku alimanda
Abakungu mu ministry y'ebyensimbi 8 abalowoozebwa nti balina akakwate ku buwumbi bwa doola 60 ezaabula okuva mu bbanka enkulu baziddwayo ku alinda ng'oludda oluwaabi bwerukyetegereza ebiwandiiko by'abantu abagala okubeeyimirira.Bano babadde balabiseeko mu kkooti evunaana abalyake mu maaso g'omulamuzi Lawrence Gidudu nga beegayirira bayimbulwe balye butaala.Omulamuzi ababuulidde nti wakuwa ensala ye ku nsonga yaabwe ey'okweyimirirwa nga 3 Omwezi ogujja.