Palamenti eyagala minisitule ennyonnyole ku ky'abayizi okwettira ku masomero
Palamenti eragidde minisitule y’ebyenjigiriza okuvaayo n’ekiwandiiko ekinyonnyola ku ngeri gavumenti gy’ekuumamu abayizi abali ku masomero, nga kino kivudde ku muyizi okuttibwa n’asuubulibwa mu kabuyonjo mu ssomero erimu mu disitulikiti y’e soroti, kwossa omuyizi omulala eyasangiddwa nga yeetugidde mu kisulo ky’abayizi ku Ssomero lya Seeta High e Mukono.Bw’abadde aggulawo olutuula lw’olwaleero, Sipiika wa Palamenti Anita Among, ategeezezza nti abazadde n’abasomesa bonna balina okuvaayo okulaba nga eggwanga terifiirwa bayizi mu ngeri ezisobola okwewalibwa.