Ebyalo 30 bisulirira kusengulwa lwa nkaayana ku ttaka
Ebyaalo 30 byebisulirira kusendebwa e Kayunga era abatuuze baddukidde wa mubaka Aidah Nantaba abayambeAbatuuze ku byalo ebisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kayonza e Bbaale mu district ye Kayunga beekubidde enduulu eri omubaka waabwe Mukyala Aidah Nantaba olw’okugobaganyizibwa ku ttaka lyabwe.Waliwo abeerimbika mu bamusigansimbi n’ekigendererwa ky’okunyaga ettaka ly’abatuuze.