Emipiira egyazannyibwa okutaasa Martin Nsubuga ’nabutono’ gimuwadde ku nsimbi
Omusambi wa tiimu ye Saaza lya Buddu Martin Nsubuga Nabutono alwanagana n’ekirwadde kya Tetanus adduukiriddwa n'obuyambi bwa bukadde 20 mu kamu zimuyambeko mu kujanjabibwa mu ddwaliro lya Rosewell gyamazze kati sabiiti sattu nga ali mumbera eya tasibewo tasulewo. omusasi waffe abadeyo mu dwaliro katubulire ebisingawo.