Basudde ebijambiya e Masaka:Abatuuze kati beggalira bukyali
Abatuuze ku kyalo Kayirikiti-Piida mu division ya Nyendo -Mukungwe balaajanidde abatwala eby'okwerinda mu kibuga Masaka okusitukiramu bajje babayambe oluvannyuma lw'abantu abatategeerekeka okubasuulira amajambiya amapya mu kitundu.Amajambiya gano gaasuuliddwa okumpi n'amaka ga ssentebe we kyalo kino nga tebanamanya kigendererwa ky'abaakoze kikolwa kino.