Bobi wine akuyegedde Sultan Salim ku kalulu k’e kisoro
Akulira ekibiina ki National UNity Platform Robert Kyagulanyi agguddewo wofiisi z'ekibiina kye mu mu munispaali y'e Kisoro mu kaweefube w'okukyongera amaanyi n’okukisaggulira obuwagizi.Ono era yegasse ku Sultan Salim, ekibiina gwekyawadde bendera okuvuganya mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala owa nisitulikiti y’ekisoro.
Okusunsulamu abeegwanyisa ekifo kino kukomekkerezeddwa lwaleero.