EKIFO AWAKUUMIRWA ENKULA: Zziwa Rhino Sanctuary egguddwawo nate
Ziwa Rhino Sanctuary ekifo ekikuumibwamu enkula mu district ye Nakasongola ekyali kyaggalwa nga 20 ogw’okuna oluvanyuma lw’obutakaanya wakati wa nanyini ttaka n’ekitongole kya Rhino Fund Uganda ekyali kizirabirira kyadaali kizeemu nekigulwawo. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omunsiko mu ggwanga ki Uganda Wildlife Authority kitubuulidde nti kyatuuse ku nzikiriziganya ne Capt. Charles Roy nanyini ttaka okugenda mu maaso nga bakuumira wano enkula 33.