EMBEERA YA DR. BESIGYE: Museveni agamba ye yeerumya enjala asobole okusaasirwa
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nti embeera y’obulamu bwa Dr. Kiiza Besigye okukosebwa ennyo kivudde ku kwerumya njala olw’ebigambibwa nti yazira emmere mu kkomera gyaali e Luzira n’ekigendererwa eky’okuvumaganya gavumenti saako n’okufunirako okweyimirirwa.Obubaka buno Museveni abuyisizza mu kiwandiiko n'anenya bannayuganda okumala ebiseera nga beemulugunya olwa Besigye okukwatiibwa nebeerabira nti omusango ogwamukwasa gwa nnagomola.Museveni asabye abo abaagala Besigye ayimbulwe balinde omusango gwe guleetebwe mu kkooti z'abantu ba bulijjo kubanga kkooti y'amagye ensonga yali ezikutte bulungi wabula kkooti ensukkulumu n'eyingirira emirimu gyayo.