Emisinde gy’amazalibwa ga Kabaka :Entekateeka zigyiddwako engalo
Abaddusi abasoba mu lukumi be basuubirwa okwetaba mu misinde gy’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi ag’emyaka 70 egyinaasimbulwa mu lubiri e Mengo nga April 6.Emisinde gyino gya mulundi gwa 12 era ng’omwaka oguwedde gyakutambulira ku mulamwa ogw’abasajja okubeera abasaale mu kulwanyisa akawuka k’amukenenya .Aba Airtel Uganda nga be bavujjirizi abakulu ab’emisinde gyino olwaleero bakwasizza bannamawulire ebikozeseba mu misinde.