Obunkenke e Najjeera :Abaana basatu babuze mu sabiiti ssatu zokka
Okubula kw’abaana mu bitundu by’e Najjeera kuleeseewo obweraliikirivu nga mu bbanga lya ssabbiiti ssatu abaana babiri tebannamanyika gye bali. Kyokka eby’akazuulwa biraga nti abaana bano bombi nga bawala abatannaweza myaka 18, bava mu maka ag’enjawulo naye bazze balaga nti tebakyafugika waka nga beetoolatoola n’abalenzi. Poliisi etegeezezza nti okubula kw'abaana bano si kagenderere era ababalina baakuggulwako emisango okusinziira ku myaka gyabwe.