Omuyaga gw’e Kalangala: Abaakosebwa nakati tebanafuna wakusula
Abatuuuze abaasimattuka omuyaga ogwakosa ekizinga kye buggala mu disitulikiti ye Kalangala nakati bakyayagga, olwokubulwa obuyambi obwamangu naddala aw’okusula.Tukitegedde nti bangi ku bano bakyasula mu matundubaali, olw'amabaati g’enyumba zaabwe okutwalibwa omuyaga, songa n'ebirime byonna byagwawo,ekibatadde mu katyabaga k’okulumwa enjala ani amuwadde akatebe.Abakola ku bigwa tebiraze bagamba nti baliko obuyambi bwe bafunye okuva mu wofiisi ya ssabaminisita, era nga akadde konna baakutandika okubugaba.