ZUNGULU: Wiiki eno, ekikyali ku mimwa gy'abangi, ke kalulu ka Kawempe North
Wiiki eno, ekikyali ku mimwa gy'abangi, ke kalulu ka kawempe North. Emboogo ezaavugira ku b'oludda oluvuganya balirwawo nga bazinyumya kubanga mbu ababatwalira mu drone batuuka n'okubalagira babasanyuseemu nga babayimbira ennyimba zaabwe.Era wetwogerera bino singa Mathias Walukagga alanga show n'agituuma TUGENDE E NAMBOOLE, ayinza okujjuza muli abavuzi ba Drone olw'akayimba okubanyumira.Bino n'ebirala mu Zungululu.