“Mwalaga obunafu mu kulonda kw’e Kawempe” Minisita Nobert Mao alumirizza akakiiko k’ebyokulonda .
Minisita akola ku nsonga z’amateeka Nobert Mao munyikaavu eri akakiiko k’e byokulonda nga agamba nti kaalaga obunafu mu kulonda kwa Kawempe North ekyaviirako obuvuyo bwonna. Mao agamba nti singa akakiiko ke byokulonda kaali kanywevu mu byekakola, nab’ebyokwerinda abaatulugunya abantu tebandyetaagisizza. Kaakati ono agamba nti ky’azzaako kwe kuwayaamu n’omukulembeze we ggwanga ku butabanguko obwali e kawempe okwewala embeera ng’eno okulabikako mu kulonda kwa 2026.