Enkaayana z’ettaka e Lwemiyaga:Abatuuze balinze Museveni okubazza gye baabagoba
Abatuuze abawangaalira mu kitundu kye Lwemiyaga mu district ye Ssembabule balaajanidde omukulembeze w'eggwanga abataase abazze ku ttaka lyabwe kwe baagobwa.Ettaka eryogerwako kuliko ery'e Lwembogo ne Ntyazo abatuuze lyebagamba nti lya gavumenti kyokka nga waliwo abaakozesa olukwesikwesi nebabagobako.Bano baliko n'abakulembeze mu kitundu kyabwe be balumiriza okuba emabega wa bino byonna.