Ettendekero li Aga Khan litikidde abayizi abasobye mu 120
Ettendekero li Aga Khan litikidde abayizi abasoba mu 120 mu masomo ag'enjawulo. Omukolo guno gubadde ku Serena Hotel mu Kampala.Ku mukolo guno, abeetabyeko mwebasinsidde okutendereza omulimu amakula omulangira Karim Al-Hussein Aga Khan ow'okuna gwe yakola bwe yalowooza ku kuggulawo ettendekero okubangula bannayuganda. Ono ajjukiddwa n'olw'emirimu gye emirala mu kisaawe ky'ebyobulamu n'ebyenjigiriza. Omumbejja Zahra Aga Khan y'abadde omugenyi omukulu.