“Obuwumbi 20 mwabukozesa mutya? Ab’ebyenjigiriza gabakanukidde mu kakiiko ka PAC
Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo kibabuseeko minisitule y’ebyenjigiriza bw’eremereddwa okunnyonyola ku ssente obuwumbi 20 kyezaakola mu nteekateeka ey’okuzimba amatendekero g’ebyemikono okwetoloola eggwanga. Entekateeka eno yatandika mu mwaka 2017 , nga yalina okukomekkerezebwa mu mwaka 2022, kyoka n’olwaleero amatendekero agogerwako teganaggwa, kyoka nga nagakazimbibwa ga kiboggwe.