“Teri masimu mu masomero”; gav’t erungamizza ku nkola ya digito gye yatongoza
Yadde nga gavumenti yatongoza enkola ey'okunnyikiza enkozesa ya tekinologiya mu kusomesa abayizi, eyatuumibwa digita Agenda Strategy, abakulu mu minisitule y'ebyenjigiriza bagamba nti abayizi tebakkirizibwa kukozesa masimu ga mu ngalo. Ayogerera minisitule y'ebyenjigiriza Dennis Mugimba agamba nti eky'okukozesa amasimu kyakugira nga kirindako okutuusa nga gavumenti evuddeyo n'enkola oba Policy enaalungamya enkola eno.